TOP

'Nakomye magombe'

Added 19th May 2016

‘Nakomye magombe’

BW’OBA abadde akyatenda ttiyaggaasi wa poliisi ya Uganda nga bagumbulula abeekalakaasi ate bbo ab’e Kenya mu bukambwe bakirako ennumba! Bonifance Manono y’omu ku baalozezza ku bukambwe bwa poliisi ya Kenya bwe baamukubye ebiggo n’okumusamba mu ngeri eyavuddeko abantu okumubika nti afudde.

Manono baamukubidde mu kwekalakaasa mu kibuga Nairobi mu Kenya abaayo bwe beecanze nga baagala wabeewo enkyukakyuka mu mateeka g’okulonda nga bazingiramu n’akakiiko k’ebyokulonda. Okulonda kwa mwaka gujja.

Manono okukubwa mu ngeri ey’obukabwe eyavumiriddwa ennyo ebibiina ebirwanirizi by’eddembe ly’obuntu mu nsi yonna, musajjawattu yabadde ava kukola ‘yintaviyu’ okufuna omulimu mu kibiina kya takisi.

Agamba nti bwe yatuuse ebweru kwe kulengera abadduka nga poliisi ebagoba olwo kwe kuddukira awalala gye yagwiridde mu babaaya abaamukubye n’agwa ku ttaka ne batandika okumusamba omutwe mu ngeri eyawuniikirizza buli eyalabye ku bifaanananyi.

Waliwo munnamawulire eyamuyambye n’amuzza ku bbali olwo n’afuna amukibira essimu okuyita owooluganda lwe eyamututte okujjanjabwa. Emiggo baagikubye bangi omwabadde ne maama w’abaana eyalabiddwa ng’akaaba nga bw’alaajana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...