TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ziza Bafana abotodde ebyama! "Nnina abaana babiri mu bakazi 2"

Ziza Bafana abotodde ebyama! "Nnina abaana babiri mu bakazi 2"

Added 30th May 2016

Omuyimbi Ziza Bafana, eyayimba Guluma Asomye abotodde ebyama nga bw’alina abaana babiri buli omu ne Maama we nga bombi balenzi.

Omuyimbi Ziza Bafana, eyayimba  Guluma Asomye abotodde ebyama nga bw’alina abaana babiri buli omu ne Maama we nga bombi balenzi.

Agambye  nti, eyasooka yamuzaala mu mukyala Munyankole nga kuyingira kisaawe kyakuyimba n’agamba nti ono alina emyaka ettaano (5). 

“Oluvannyuma nnafunyisa omuwala owookubiri  olubuto ne mmuzaalamu era kati omwana alina emyaka esatu,” Bafana bwe yannyonnyodde owoolugambo lwaffe.

Wabula yagambye nti tasobola kuwasa bakyala be yazaalamu kuba baafunamu obutakkaanya

Yategezezza nti alina omuwala gw’ayagala kyokka n’agana okumwogera amannya ge  

Yayongeddeko  nti  yaganzaako abawala nga baaluganda kw’omu ku bakazi be yazaalamu omwana, yakitegeera luvannyuma nti baali baaluganda kyokka Maama w’omwana we n’amusonyiwa. Okuva kw’olwo n’akyawa obwenzi nga kati asibidde ku mukazi omu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....