
OMUSAJJA alidde matereke ne Godfrey Kasiita akulira ebyokwerinda mu katale ka Owino. Kasiita yabadde agenda agobaganya abasuubuzi abatundira mu luggya lw’akatale ne balemesa ab’emidaala okukola.
Yabadde n’ekibinja ky’abavubuka ne boogera n’omusajja ono kyokka ng’agamba nti talina gy’alaga naye anoonya mata g’abaana.
Kino kyanyiizizza Kasiita n’alagira abavubuka be ebidomola ne babisuula wabweru w’akatale n’asigala nga yeekwasa nti ssinga tabadde mu sawumu (ekisiibo) baalirabye akamufaamu