TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Awozezza omusango gw'okumuziika mu ntaana emu ne bba n'aguwangula

Awozezza omusango gw'okumuziika mu ntaana emu ne bba n'aguwangula

Added 7th July 2016

BW’OBA obadde weewaana kulaga balo oba muganzi wo amapenzi, ate sooka owulire ono. Renate Spickenreuther, 71 ow’omu Bungereza awangudde omusango gw’okumuziika ne bba mu ntaana emu nayo amulagireyo amapenzi.

 Ekifaananyi kyabwe nga Hanson akyali mulamu.

Ekifaananyi kyabwe nga Hanson akyali mulamu.

BW’OBA obadde weewaana kulaga balo oba muganzi wo amapenzi, ate sooka owulire ono. Renate Spickenreuther, 71 ow’omu Bungereza awangudde omusango gw’okumuziika ne bba mu ntaana emu nayo amulagireyo amapenzi.

Bba Peter Hanson eyali omusuubuzi omututumufu, yafa mu 2012 nga baakamala emyaka mukaaga gyokka mu mukwano.

Abadde mu kkooti eya Consistory Court mu Bungereza ng’attunka n’abooluganda lw’omugenzi abaali baamusimbidde ekkuuli okumuziika n’omugenzi mu ntaana emu.

Aba famire ya Hanson baludde nga bamwewerera okumulemesa okutaataaganya omugenzi kyokka ye ng’awoza kimu nti amapenzi bba ge yamulaga mu kaseera akatono ke baamala bombi awulira akyayagala bagatwale mu maaso nga bali e magombe.

Bwe baali bazimba amalaalo ga Hanson, wamberi munda, nnakyala ono yalagira balekewo aw’okumugalamiza ng’afudde babeera nga bwe baasulanga ku kitanda ng’ayagala omukwano gwabwe gugende mu maaso nga bugolo. Abooluganda lw’omugenzi omukazi bamuyita mulalu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...