
OMUYIMBI Iyrn Namubiru kati okuyimba akuvuddeko azze mu kukwata kidima? Bwe yabadde e Mityana gye yagabidde abaana abataliiko mwasirizi ebintu ebikozesebwa omwabadde engoye, engatto z’abaana, amasuuka, bulangiti n’ebikozesebwa mu kulima, naye kennyini yeenyigidde mu kukwata enkumbi naye ng’alinga atya okumulaba ekyewuunyisizza ab’e Mityana nga bwe beebuuza oba yali akutteko ku nkumbi.
Namubiru yabadde ku byalo Namukozi ne Nambaale mu kibuga Mityana ng’eno waliyo abakyala b’atandise okuwa obuyambi ng’ayita mu kibiina kye eky’obwannakyewa ekya ‘Gather for Children’.
Namubiru alina abakyala abasukka mu 100 b’atandise okukwata ku mukono ng’ayagala okukyusa obulamu bwabwe.
Abaaweereddwa ebintu abasinga balina abaana be balabirira ng’ate beetaaga obuyambi.
Namubiru agamba nti abasuubira okulima emmere gye balya n’okutundako basobole okulabirira abaana baabwe. Yabasuubizza okusigala ng’abayamba.