
OMUYIMBI Fyona Namutebi Nsubuga amanyiddwa nga ‘Dance hall Gudies’ aleese oluyimba ‘Ba Nzikiza’ n’asalawo vidiyo yaalwo okugikwatira mu mpuku ejjudde enzikiza okulagira ddala abantu b’ayogerako.
Oluyimba luno lukwata ku bantu abeefuula ababo kyokka oluvannyuma ne bakwefuulira, nga bava ku bintu bye mwateesa.
Fyona agamba nti omuntu gw’abadde ayita owuwe ate bw’amuvaamu, kimu ku bintu ebisinga okumuyisa obubi mu bulamu bwe.
Vidiyo eno yakwatiddwa ku luguudo lw’e Salaama mu mpuku ejjudde enzikiza okulagira ddala nti abantu b’ayimbako emitima gyabwe giba gyaddugala nga enzikiza.
Fyona ye yakuyimbira ennyimba nga ‘gwa Sampyo,’ ne Ziza Bafana, Sunda love, Sembera, Y’amanyi Mukama ne Judith Babirye n’endala.