
OMUYIMBI Amelia Nambala azadde. Ono ye mwana we owookubiri nga yazaalidde mu ddwaaliro lya Nakasero Hospital ku Ssande.
Amelia eyeewaana nti alinga basajja tabalirwa nzaalo twamusanze alabirirwa baganda be mu ddwaaliro.
Yategeezezza owoolugambo waffe nti kati asumuludde kubanga ayagala kusooka kuzaalira musajja we abaana abawera alyoke addemu eby’okuyimba nga talina kimutawaanya.
Omwana gwe yazzizzaako wa myaka esatu n’agamba nti kati abuzaayo omu oba babiri ekintu akite. Nambala alina omusajja omusuubuzi wa mmotoka mu Kampala gwe yafuna azze amukolera ebintu era naye kwe kusalawo amuzaalire