
ONO omumegganyi tatya kwetiba bakyala bafumbo! Yasitudde Leilah Kalanzi amanyiddwa nga Kachapizo ng’amulanga kwefuula waakabi.
Bino okubeerawo, kyaddiridde Kachapizo okunyooma omumegganyi ng’amuwakanya nga bw’atamusobola.
Kino kyawalirizza omumegganyi okumubeba okumukakasa nti ddala amusobola ate mu mbeera zonna. Byabadde ku kisaawe e Mukono ku Ggombolola abamegganyi gye babbinkanidde era gye byaggweredde nga Bugerere enywedde mu banne akendo.