TOP

Kati mulembe gwa Bataka kuvuganya mu byuma

Added 11th August 2016

Kati mulembe gwa Bataka kuvuganya mu byuma

OKUVUGANYA mu Bataka n’abakulu b’ebika kulabika kufuuse kw’ani asinga ekyuma eky’ebbeeyi. Omanyi gye buvuddeko, abeddira engeye baagulira jjajjaabwe Haji Minge Kibirige Kasujja (ku kkono) ekyuma bwe yali agenda okwanjulibwa ewa Kabaka era yasoomooza abazzukulu b’ebika ebirala.

Wabula w’osomera bino, nga bazzukulu ba Muteesasira, abeddira Engo nabo bamuyiyeemu ekyuma.

Emmotoka eno ya kika kya Range Rover Vogue model 2015 ng’era Omutaka Keeya Tendo Namuyimba Muteesasira (ku ddyo) gye yatambuliddemu okugenda e Butambala okwetaba ku mukolo gw’amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 23 gye buvuddeko.

Emmotoka eno yateereddwaako ennamba mu linnya MUTESA 67 nga yamuweereddwa mu kiti kye Bazzukulu be nga Muteesasira ow’e 67.

Terina kasozi kagiremerera kulinnya wadde akaseerezi. Mulimu fi riigi munda era ng’abazzukulu baatutegeezezza nti yaakukola bulungi emirimu gy’ekika kino ng’Omutaka alambula abazzukulu n’okwetaba ku mikolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...