TOP

Bamwefaananyirizza omubbi ne bamutta

Added 20th August 2016

OMUSAJJA eyatutteko famire ye ku bbiici e Majorca mu Spain afi iriddewo ababbi b’omu Ireland bwe bamukubye amasasi ana mu mugongo lwa kumwefaananyiriza mubbi munnaabwe eyabatwalako omunyago.

OMUSAJJA eyatutteko famire ye ku bbiici e Majorca mu Spain afi iriddewo ababbi b’omu Ireland bwe bamukubye amasasi ana mu mugongo lwa kumwefaananyiriza mubbi munnaabwe eyabatwalako omunyago.

Sseruganda ono, yabadde azannya ne muwala we ng’eno mukyala we ne mutabani waabwe bwe bamuvaako emabega.

Kigambibwa nti waliwo ababbi abaabadde baagala okwesasuza munnaabwe eyadduka n’omunyago gwe babba era bulijjo bamuyigga bubi nnyo.

Bwe baakitegeddeeko nti yaddukira Spain, nabo ne bawondera mu kugezaako okumuyigga.

Eky’ennaku, kigambibwa nti omusajja ono yabadde ayogera ebikwata ku babbi wano we waavudde eyatemezza ku babbi nti azudde gwe banoonya.

Bano tebaamaze kwetegereza ne bamukuba amasasi agaamuttiddewo mu maaso ga mukyala we n’abaana baabwe.

Kyazuuliddwa luvannyuma nti omusajja ono yabadde mugwira okuva mu Ireland. Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonya abasse omusajja ono.

Palma de Mallorca

Costa de la Calma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...