TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Desire Luzinda aseeseetudde emyaka ng'ajaguza amazaalibwe ge

Desire Luzinda aseeseetudde emyaka ng'ajaguza amazaalibwe ge

Added 24th August 2016

Oluvannyuma lw’emyaka ena ng’asibidde ku myaka 25, kyaddaaki omuyimbi Desire Luzinda eyakazibwaako erya ‘kitone’ aseeseetuse nga kati awezezza emyaka 26.

 Luzinda ng’asala keeki ye ey’amazaalibwa. Ku ddyo, Ebimu ku byana ebyabadde ku kabaga ka Luzinda.

Luzinda ng’asala keeki ye ey’amazaalibwa. Ku ddyo, Ebimu ku byana ebyabadde ku kabaga ka Luzinda.

Oluvannyuma lw’emyaka ena ng’asibidde ku myaka 25, kyaddaaki omuyimbi Desire Luzinda eyakazibwaako erya ‘kitone’ aseeseetuse nga kati awezezza emyaka 26.

Yasinzidde ku kabaga k’amazaalibwa ge kwe yalagidde ssente ku Lwomukaaga ekiro ku Riders Lounge ku Acacia Place e Kamwokya ng’okukeetabako wabadde olina kuba ng’oyambadde byeru n’ategeeza mikwano gye n’abamu ku bawagizi be abaabaddewo nti, “eky’emyaka temukibuuza naye mukimanye nti nkuze era mpezezza 26” olwo enduulu n’evuga abalala nga bwe bagamba nti, wabula Desire olimbye emyaka.

Omugagga Lwasa (wakati) ng’ali ne Luzinda ku kabaga. Ku kkono ye mwannyina wa Lwasa, Rose Namanda.

Desire yasoose kwewuunyisa abaabadde bamulindiridde wabweru bwe yajjidde mu mmotoka ekika kya BMW X6 gy’atera okuvuga ennaku zino era waliwo abaawuliddwa nga beebuuza gy’agya ssente.

Eby’okunywa n’okulya byabadde bya bwereere okutuusa akabaga lwe kaawedde ku ssaawa 8:00 ekiro.

Afande Titus Kiwanuka (eyali bba wa Catherine Kusasira) ng’ali n’ebyana.

 

Nga tannasala keeki, yasoose kutambula nga bw’abuuza ku bagenyi be n’okwekubya nabo ebifaananyi.

Bwe yatuuse ku mugagga Emmanuel Lwasa owa Lwasa Events ono yamuwaanye (Lwasa) nti Desire y’omu ku bayimbi abamukubira emiziki egimusanyusa era y’ensonga lwaki avudde e Masaka okujja ku kabaga ke.

Luzinda ng’afuluma emmotoka mwe yajjidde.

 

Yamusuubizza okumuteekamu ssente okutumbula ekitone kye eky’okuyimba nga bw’ayamba abayimbi abalala.

Kino kyacamudde Desire n’amwebaza n’abantu abalala abazze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...