
Baby Gloria ng’akwata vidiyo y’oluyimba ‘DNA.’
BABY Gloria takyasaana kuyitibwa bbebi mu by'okuyimba. Aleese vidiyo y'oluyimba lwe yatuumye ‘DNA’ ensuffu.
Oluyimba luno yaluyimbye ng'ali n'omuyimbi Ruyonga amanyiddwa mu kuyimba ennyimba za Hip Hop.
Bwe yabadde akwata vidiyo eno, yayolesezza obukugu okukakasa nti takyali ‘bbebi’.
Obutafaananako n'ennyimba za Gloria enkadde mw'abeera ne bato banne, mu luyimba luno mulimu abavubuka abazinyi abeenyoola okukira enje ne baleka omulabi ng’awuniikiridde.
Obubaka obuli mu luyimba luno bugamba nti omulokozi Yesu y'omu ku butoffaali bw'omusaayi gwe anti buli ky'akola gw’akulembeza.
Oluyimba luno lwayimbiddwa mu sitayiro bbiri eya Hip Hop ne RNB.
Gloria agamba okusalawo okuyimba mu sitayiro ezo ebbiri yazudde ng'abavubuka ze basinga okwagala era kijja kubanguyiza okumanya n'okutwala obubaka obuli mu luyimba luno.