TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Desire Luzinda Poliisi emutaasizza ku badigize b'e Kalungu ababadde bamupeeka okubalaga 'ekitone' ekya ddala ku siteegi

Desire Luzinda Poliisi emutaasizza ku badigize b'e Kalungu ababadde bamupeeka okubalaga 'ekitone' ekya ddala ku siteegi

Added 3rd September 2016

Desire Luzinda ow'ekitone Poliisi emutaasizza ku badigize ababadde bamuyiikidde ng'ayimba mu bbaala e Kalungu ne bamupeeka abalage ebitone bye ebyaddala.

Desire Luzinda ow'ekitone Poliisi emutaasizza ku badigize ababadde bamuyiikidde ng'ayimba mu bbaala e Kalungu ne bamupeeka abalage ebitone bye ebyaddala.

Luzinda ye yakuliddemu abayimbi abaasanyusizza abadidigize ku kabaga akaategekeddwa omugagga omuto Michael Kalumba kwe yajagulizza emyaka 4 egy’ebbaala ye eya Kikankane Pub-Lukaya ng’esanyusa Bannakalungu.

Akabaga kaabaddeko abayimbi abalala okuli Stella Kayaga,Dissan Kasasa,Country Boy,Charles Ssekyewa n’abalala abaasinsimulidde abadigize emiziki mpaka budde kukya.

Ku ssaawa 7 ogw’ekiro Luzinda yayingiddewo ng’akuumibwa bammundu n’alya mu ndago mwe yasoomolezza ebyana ebimweppikira mu kitone byesowoleyo nabyo ne bimusalako.

Yattunse nabyo mu mazina ng’eno abavubuka bwe bamukung’aanirako olwo abapoliisi ne bayingirawo okubamutaasaako. Oluvannyuma yeegasse ku baateeseteese keeki ne bagisala ate ebbinu ne litojjera buto.

Bakira abamu baggyayo obusimu ne bakwata Desira ng’abamu baasitamye nti bamukwate ku bitone so ng’abandi baayayaanidde kya kuzinako naye n’okwekubisa ebifaananyi ate abalala baanywesezza abaagalwa baabwe.

N’omugagga Kikankane yalinnye siteegi n’akooka ne Desire n’okubiibya ku galiba enjole olwamaliriza poliisi n’eddamu okumukuuma paka lwe yamulinyisizza mmotoka ye ne beggyawo.

Luzinda yategeezezza Bukedde nti “gwe gusoose okuyimbirako mu Kalungu naye bansanyudde nnyo olw’okubeera abacamufu nga bawa amaanyi okubayimbiramu.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...