TOP

Bad Black azzeemu okulokoka omulundi ogwokubiri

Added 7th September 2016

MWANAMUWALA Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black alokose omulundi ogwokubiri. Yalabiddwaako mu kkanisa y’omusumba Kayanja e Lubaga ng’amusabira.

MWANAMUWALA Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black alokose omulundi ogwokubiri. Yalabiddwaako mu kkanisa y’omusumba Robert Kayanja e Lubaga ng’amusabira.

Yafukamidde mu maaso ne mutabani we ekintu ekyayongedde okulaga abantu nti ddala kituufu Bad Black yalaba omusana n’adda eri Mukama.

Oluvannyuma Bad Black yakutte akazindaalo ne yeenenya ebibi byazze akola n’ategeeza abantu nga bwe yakyuka takyali mu biri bye baali bamumanyiddemu.

Black bwe yali yaakava mu kkomera yasookera mu kkanisa ya Entebe Miracle Centre ne bamusabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulangira Ssimbwa

Omulangira Ssimbwa eyasimat...

Omulangira Arnold Ssimbwa afudde. Ono ye Muzzukkulu wa Ssekabaka Muteesa II omukulu era y'omu ku baasimattuka akabenje...

Nnabagereka wa Buganda yeet...

Nnaabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda yeetabye ku mukolo gw'okuwerekera omwoyo gw'omugenzi Dr. Cyprian Kizito...

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde ...

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga...

Kalidinaali Wamala

Kalidinaali Emmanuel Wamala...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng'...