TOP

Jennifer Mary atongoza nkya olutambi lwe e Bungereza

Added 10th September 2016

“Mpulire essanyu buli lwe nninnya ku siteegi okuyimba ne nvaako nga waliwo abantu Abalokose kubanga eno y’emu ku nsonga lwaki nnasalawo okuyimba,” bwatyo omuyimbi Jennifer Mary bw’ayogera ku bulamu bwe obw’okuyimba.

 Omuyimbi Jennifer Mary

Omuyimbi Jennifer Mary

Bya Musasi wa Bukedde

Jennifer omuyimbi w’ennyimba ez’Eddiini era y’omu ku Bannayuganda abayimbi ababeera ebweru wa Uganda, ng'emirimu gye egisinga agikolera Bungereza gy’ayimbira.

Okumanya anyiikiridde okukuba omuziki, w’osomera bino enkya ku (Ssande) atongoza olutambi lwe olupya ‘God is higher’ ku mukolo ogutegekeddwa ku Meridian Sports & Social Club Center-  Carlton Park Lane, London  SE7 8QS ng'awerekeddwako abayimbi abalala okuli ne Daudi Lumu.

 

Lumu ne Jennifer

 

 


Jennifer y’omu ku bayimbi aboogerwako okuba n’ekitone ky’okuyimba eky’enjawulo. Ng'oggyeeko okuba n'ekirabo ky'eddoboozi  esseeneekerevu, muwandiisi wa nnyimba mulungi ate n'ayimba mu nnimi ez’enjawulo.

Yatandika okuyimba mu 2010 era ebbanga ly’amaze mu nsiike eno akoleddemu 'Album' z’ennyimba bbiri nga buli emu eriko ennyimba 9. Emu ku zzo eri mu Luganda ate endala eri mu Lungereza.

Mu zimu ku nnyimba ze kuliko; ‘Nyamba Mukama’ olumutunze ennyo. 

 

 

 


Enddala kuliko; Silire Kusinza, Ye yekka, Tusinze, Nnyamba Mukama, Weetikkule emigugu, Nywera Mmeeme yange.

Ate ez’Olungereza kuliko; God is higher, Worship the Lord, Hossana to the king, We love you, He’s all that I am , We give you praise,

Jennifer agamba nti ekirooto kye mu kuyimba, kusomesa n’okubuulira enjiri okulaba ng'abantu beenenya ebibi byabwe ne badda eri Katonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...