
OMUYIMBI Desire Luzinda acamuddee Bannayuganda ababeera e Sausi ku mukolo gw'emisono Starqt e Sausi ogwategekeddwa Stella Nankya mu Johhernburg.
Enkuuka eno yatagekeddwa nannyini kibiina kya Starqt, Stella Nankya, omwolesi w'emisono e Sausi nga gwetabiddwaako Bannayuganda abenjawulo okwabadde ne Ivan Ssemwanga wamu ne Meddie Ssentongo.
Bannayuganda baavuganyizza mu bintu ebyenjawulo omuli okwolesa emisono, okwambala, okuyimba, obwannalulungi, sserulungi, n’endala nnyingi era abawanguzi ab'enjawulo baafunye ebirabo.
Nankya ng'afuuwa Desire ssente
Desire yesazze eyabaddemu omuyimbi omukulu yalinnye ku siteegi nga yeesaze akagoye akalinga 'niyiti' esulibwamu olwo abantu ne bacamuka.