
Mahabba n'okugulu kwe nga bamukwatiridde
MUNNAKIBIINA kya NRM, Janat Mahabba owa Munisipaali ya Ssaabagabo Makindye awali ensonga z’abavubuka tomunyumiza bya bulwadde.
Mahabba kati atambulira ku muggo oluvannyuma lw’okuloza ku kimama ky’aba bodaboda abaamusuula ku kabenje n’amenyeka okugulu kwa kkono, yazze bamukwatiridde okusobola okwetaba ku mukolo gw’okutongoza Sacco y’abavubuka b’omu disitulikiti y’e Wakiso.
Mahabba amanyiddwa ng’omuvubuka ow’amaanyi ku luno yalabise nga gamuwedde kuba ne we baayimbidde oluyimba lw’eggwanga yalemeddwa okuyimirira n’awanika mukono gwokka.
Mahabba eyabadde ku mukolo gw’abavubuka b’omu disitulikiti y’e Wakiso, yagambye nti ekikwata ku nsonga z’abavubuka tebamutumira mwana era yabadde alina okwetuukira.