TOP

Bakazi b'omugagga Kirumira bali ku ani asinga

Added 27th October 2016

BAKYALA b’omugagga Godfrey Kirumira okuli Grace Namara Kirumira eyali omubaka wa palamenti omukazi owa disitulikiti y’e Lyantonde ne Suzan Mirembe Kirumira bombi abayiyeemu mmotoka ensajja ekika kya ‘Range Rover Sport’ buli omu n’ateekako amannya ge.

 Grace Namara Kirumira n'emmotoka ye

Grace Namara Kirumira n'emmotoka ye

BAKYALA b’omugagga Godfrey Kirumira okuli Grace Namara Kirumira (waggulu mu kifaananyi) eyali omubaka wa palamenti omukazi owa disitulikiti y’e Lyantonde ne Suzan Mirembe Kirumira (wansi mu kifaananyi) bombi abayiyeemu mmotoka ensajja ekika kya ‘Range Rover Sport’ buli omu n’ateekako amannya ge.

Eya Grace yataddeko “G2’ ate eya Suzan n’ateekako S1. Wabula abantu ababamanyi buli muntu awaana yiye nti yasinga mmotoka ey’ebbeeyi.

 

Mmotoka ya Suzan n'emmotoka ye

 

Emmotoka ya Grace nzirugavu ate eya Suzan eri mu langi njeru. Okuva Kirumira bwe yabagulidde emmotoka zino, afuna akaseera n’atambulako nabo mu mmotoka zaabwe ekintu ekibawa essanyu.

Zino si ze mmotoka zokka ze balina wabula buli lw’abagulira emmotoka abagulira ekika kimu kubanga yasooka kubagulira Hummer ng’eya Grace ya kiragala ate eya Suzan ya kivuuvu era nga ne Benz buli omu alina n’ebika ebirala.

Bonna balina amayumba agatemagana era abamanyi Kirumira n’omukwano gw’alaga bakyala be bagamba nti ebintu bye abikola ngeri ya Kisiraamu anti abakyala abayisa kyenkanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...