TOP

Naluwooza aswazizza abamusibako abasajja

Added 18th November 2016

Naluwooza aswazizza abamusibako abasajja

NAKINKU mu kunyeenyeza abayimbi ab’enjawulo ekiwato, Eva Naluwooza essanyu alina lya mwoki wa goonja oluvannyuma lw’okuzaalira bba omwana omulenzi.

Omanyi gye buvuddeko eηηambo zibadde ziyitiηηana ku ntimbagano z’empuliziganya nga mwana muwala ono bwali olubuto kyokka ng’atankanibwa taata w’omwana era nga balusibye ku bayimbi abawera b’anyeenyeza ebiwato ku siteegi okusanyusa abawagizi baabwe omwabadde ne Eddie Kenzo.

Owoolugambo waffe olwamutuuseeko mu kalwaaliro ka Maama Maria e Kagoma gye yazaalidde n’akubira bba essimu ng’amusaba ajje amulage ensi yonna abantu bave mu kumupaatiikako abasajja batamanyi.

Bba Mansur Kafeero (asitudde bbebi) yazze nga musanyufu era n’ategeeza nga bwe bamaze emyaka ebiri nga baagalana ne Naluwooza eyamuzaalidde era n’akakasa nti omwana wuwe. Yamutuumye Ryan Kiggundu Omar

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....