
MEEYA wa Munisipaali y’e Lubaga, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo agobye bakansala abambala ng’abatembeeyi mu kanso. Bw’oyingira kanso ng’oyambadde ng’agenda mu lukiiko lw’ekyalo, Meeya akufulumya eby’okuteesa n’obivaako.
Meeya Ssebuggwawo yalagidde abasajja n’abakyala bambalenga ssuuti oba ebiteeteeyi ebirungi ng’agamba nti ayagala abantu abambadde obulungi okuwa olukiiko ekitiibwa.
Era bakansala bino olwabagudde mu matu ne badduka mu maduuka buli omu n’afunayo essuuti nga n’abamu baggyeyo za bbanja.
Wano bakansala okuli: Hakim Kisekka (Lubaga I) Samuel Nsereko (Najja II) Keneth Ssonko (Kasubi), Musa Mbazira (Kabowa II), Moses Baraza ( Namirembe Bakuli II), Rose Kabuubi (Lungujja), Henry Lutwama ( Bavubuka) ne Aidah Nabatanzi nga banekedde mu masuuti. Baabadde bava mu lukiiko ku Pope Paul mu Ndeeba.