TOP

Kikafuuwe nze Zalwango okusemba nakyo

Added 15th December 2016

Kikafuuwe nze Zalwango okusemba nakyo

LEILA Zalwango omusuubuzi w’engoye era omu ku bawala abamanyiddwa okusula nga batiguka mu bifo ebisanyukirwamu mu Kampala yeewuunyisizza abaabadde mu mpaka za bassereebu ezaatuumiddwa “Abryanz Style & Fashion Awards 2016.

” Zaagenze okuwera ssaawa 2:00 ez’ekiro, Zalwango yabadde amaze okutuuka ku Serena awaabadde omukolo guno era yazze ayambadde ekiteeteeyi ekyeru. Obwedda atambula tambula nga buli w’ayita omulaba kunyeenya mutwe n’okukwata ku mumwa nga yeewuunya emisono ebyana gye byesaze.

Mu kiseera kino abantu baabadde bakyali wabweru we baasoose okukuηηaanira n’okugaba engule ezimu. Oluvannyuma yeetegudde mpolampola ng’alinga gwe bakubidde essimu kyokka yazzeemu okulabika ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ng’ekiteeteeyi ekyeru akiggyeemu ng’asuddemu akatangalijja akalimu ebimuli.

Bwe yabuuziddwa ekyamutuuseeko, yazzeemu kimu nti “Sisemba nakyo, ηηenze okulaba nga buli we ntunula abaana basimudde nange kwe kulinnya bodaboda ne ηηenda eka okukyusa era kati ndowooza olaba nange ndi ku nnoobu”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...