TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Kayihura alabudde abayimbi n'abategesi b'ebivvulu ku mivuyo

Kayihura alabudde abayimbi n'abategesi b'ebivvulu ku mivuyo

Added 22nd December 2016

Kayihura alabudde abayimbi n'abategesi b'ebivvulu ku mivuyo

 Kayihura ng'ali n'omuyimbi Ssembbaale

Kayihura ng'ali n'omuyimbi Ssembbaale

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura alabudde abategesi b’ebivvulu n’abayimbi okukomya okulanga ebivvulu ne batatuukiriza bye basuubizza ekivaako abadigize okwecanga n’okwonoona ebintu.

Okwogera bino yabadde asisinkanye Tonny Ssempijja omukwanaganya w’ekibiina kya UMP-NET ekigatta abategesi b’ebivvulu, abayimbi ne bannannyini bifo ebisanyukirwamu ku kitebe kya Poliisi e Naguru wiiki ewedde. Ssempijja yabadde n’abayimbi nga Fred Ssebbaale, Gravity Omutujju, Matthias Walukagga n’abalala bangi.

Kayihura yagambye nti akooye okuwulira abadigize nga beecangidde mu bivvulu ne boonoona ebintu n’asaba abategesi b’ebivvulu n’abayimbi okukwatagana obulungi mu biseera  bino ebya Ssekukkulu ate n’abayimbi bakwate ssente z’ebifo bye bajja okusobola okutuukamu okuyimba obutanyiiza badigize naddala mu kiseera kino nga ssente efuuse akasente.

Yasabye bannannyini bifo okufaayo okumanya abantu abategese ebivvulu okwewala okusika omuguwa n’abantu okukola effujjo era abanaakwatibwako bajja kuvunaanibwa.

Yasuubizza okuddamu okusisinkana abayimbi n’abategesi b’ebivvulu leero ku Lwokutaano ku Calender Hotel e Makindye okumalawo emivuyo n’okulaba engeri gye bagenda okukuuma obutebenkevu ku Ssekukkulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...