TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Gwe baakutte obwakireereese yeekwasizza takisi eyamulese

Gwe baakutte obwakireereese yeekwasizza takisi eyamulese

Added 22nd January 2017

Gwe baakutte obwakireereese yeekwasizza takisi eyamulese

OMUVUBUKA eyakwatiddwa obwakireereese amatumbibudde e Zzana baamuyingizza akaduukulu ka poliisi ku Kirimanyaga e Zzana.

Olwatuuse munda yasoose n’akkakkana oluvannyuma n’alabiriza abaserikale ne yeemululula mpolampola n’adduka.

Abaserikale abayambako poliisi okuziyiza obumenyi bw’amateeka baamusimbyeko ekikumi nga bw’ababuusa ebibaati by’omu luguudo ku lw’e Ntebe.

Bwe yatuuse ku Florida Hotel n’ababulako wuuyo ku siteegi y’e Zzana ne yeefubitika takisi.

Wabula takisi yaluddewo okusimbula ng’ekyanoonya abasaabaze ne bamusangamu ne bamusikamu ne bamuteekako obunnyogoga ne bamutwala nga talinnya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.