TOP

Swangz Avenue eyogedde ku kugenda kwa Irene Ntale

Added 25th January 2017

Swangz Avenue eyogedde ku kugenda kwa Irene Ntale

 Julius Kyazze omu ku bakulira Swang Avenue ate ku ddyo ye Irene Ntale

Julius Kyazze omu ku bakulira Swang Avenue ate ku ddyo ye Irene Ntale

AMAWULIRE g’omuyimbi Irene Ntale okwabulira aba Swangz Avenue gatabudde n’okwewanisa abamu ku bawagizi be emitima nga bagamba nti apapye okuva mu kibiina ekimuleze n’okumufuula omuyimbi ow’erinnya mu bbanga ettono.

Kyokka waliwo abamuwagidde nga bagamba nti aluddewo kubanga babadde tebakyamulabawo!

Nga tannalangirira mu butongole nga bw’avudde mu kibiina kino, Ntale yasoose kwevumba kafubo ne bakama be ku Mmande okulaba nga baawukana mu mirembe.

Bino we bijjidde ng’amawulire gatambula nga Ntale bwatali musanyufu ng’ayagala kuva mu kibiina gy’amaze emyaka esatu.

Omu ku banywanyi be yatutegeezezza nti Ntale abadde atendewaliddwa nga takyakwatagana bulungi ne bakama be ng’embeera esinga kuva ku kazito muyimbi munne Winne Nwagi kaamutaddeko ennaku zino ng’ate gwe basinga okubiibiita.

Kigambibwa nti Ntale eyasooka okuba omuganzi mu kibiina, ennaku zino Nwagi abadde amubuutikidde olwa ‘ffoomu’ gy’aliko n’ennyimba ezookya zaafulumiza okumu kumu ekimwongedde obuganzi eri bakama be n’abawagizi nga gwe basoosowaza mu buli kimu.

Wadde buli omu ayimba bibye, mu kibiina bano babeera mu kuvuganya, ali ku ‘ffoomu’ ne bakama be gwe basinga okufaako kubanga yaatunda n’okuyingiza ssente ennyingi mu kibiina. Waliwo n’ebigambibwa nti Ntale ne Nwagi babadde tebakyalina nkolagana nga we baatandikira ng’entabwe eva ku basajja ababakwana ne babakonaganya n’okubatabula.

Kigambibwa ensonga zino zitwalidde Ntale obudde n’okumweyinuza nga mu basajja abogerwako abamupokera omusimbi kuliko n’alina bbaala ku Centenary Park.

Ntale atuula bufoofoofo Olunaku lw’eggulo (Lwakubiri) Ntale ne maneja we omupya Sandra Ntale Byenkya baalumazeeko nga basisinkana abantu ab’enjawulo ng’era basoose kutuula nga bbo okulaba engeri omuyimbi gy’atandikamu obulamu obupya era ne bakakasa nga Ntale bwavudde mu Swangz Avenue.

Aba Swangz boogedde Julius Kyazze omu ku bakulira Swangz Avenue yagambye nti wadde wayinza okubaawo ebibadde bitatambula bulungi ku njuyi zombi, si kya bugunjufu okwanika obuziina bw’omu nnyumba. Ekikulu twakkiriziganyizza era yavuddewo mu mirembe. “Ffe eri Ntale tubadde bazadde.

Tukuzizza omwana era tuli basanyufu nti ne myuziki gwe tumusomesezza amuyize ate ekitone akirina.

Omwana bw’akugamba nti akuze ayagala kwetongola gwe omuzadde tosobola kugaana okuggyako okumwagaliza emirembe” Ku ky’okusoosowaza Nwagi, Ntale ne bamusuulira ddala, Kyazze agamba si kituufu kubanga bombi babadde babafaako ng’enkola y’ekibiina nti kyokka abantu tebalina kwerabira nti bali mu bizinensi ng’abakolera ssente gwe bagenda naye.

Kyazze era agamba nga bweri enkola yaabwe okufuna abayimbi abapya ne babatendeka okufuuka ab’akabi, mu kiseera kino balina Vincka (Veronica Naluggya) omu ku babadde batambula n’abayimbi bano eyavudde ku bwa maneja atandike okuyimba.

Nwagi ayogedde Nwagi agamba nti Ntale agenda kumusubwa ne yeegaana n’ebyogerwa nti y’amuviiriddeko okugenda. “Abantu baagala kuleetawo mpalana wakati wange ne Ntale naye ekituufu akimanyi ne Katonda akimanyi.

Nze simulinaako buzibu era ndi mu nteekateeka za kukola naye oluyimba okulaba nga tukuuma omukwano. Ntale namusanga mu omu ayamba n’okuwabula munne.

Mukyala mugumu, alina ekitone ky’okuyimba era sisuubira nti ebyogerwa nti mutaddeko akazito olw’ennyimba zange biyinza okumutiisa kubanga naye muyimbi mulungi.” Ennyimba eziwadde Ntale ettuttumu Oyinza okugamba nti Ntale tatoobye na myuziki okufuna erinnya.

Yasooka kuyimba mu kkwaaya y’ekkanisa ya Victory City Church e Ntinda nga bwasoma ku yunivasite e Kyambogo. Olwamaliriza diguli n’atandika okuyimba yekka n’akola n’oluyimba ‘Love letter’ ne Bebe Cool.

Mu 2013 yeegatta ku Swangz mu 2013 gy’akubidde ennyimba okuli: Gy’obeera, Eno ye ssaawa, Nkubukinze, Stay with me, Remote Control.

He go down, Kabugo, Sembera, Gwe aliko, Omukwano gw’ekiro, Kikomando n’endala kwagasse n’okukola ekivvulu ng’atongoza ‘Sembera’ omwaka oguwedde Abayimbi Ono yeewaggula Swangz, tubadde tukolagana nga buli ku Sheraton.

abaabulidde bakama baabwe Rema Namakula ku Bebe Cool mu 2013 n’ategeeza bw’asobola okwetengerera kye yatuukiriza era y’omu ku bayimbi abakyala abasinga mu ggwanga.

King Saha Ono yadduka wa Chameleone mu 2014 era naye asobodde okutambula obulungi. Eddy Kenzo Yava mu Fire Base bwe yafuna obutakkaanya ne Mikie Wine muto wa Bobi Wine. Naye asobodde okukola obulungi.

Young Mulo Ono yeewaggula ku Jose Chameleone ng’akoze oluyimba ‘Tebakusobola’ ne lukwatayo, kyokka okwo kwe yakoma. Eighton ne Raine Bano baali bamanyiddwa nga ba ‘Kiwoko’. Baayabulira Bebe Cool nga bafunye erinnya kyokka baayimbayo katono ne baawukana era kati Eighton yekka y’akyayimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....