TOP

Afande, sisobola kujjanjabira wano empewo zizzeeyo eka

Added 29th January 2017

SSEMAKA Noorudin Kiyemba (ku ddyo) atabukidde omuvubuka gwe yagwiikirizza ng’agezaako okufera mukazi we, Hadijah Nabakooza okumunyagako ssente mu lukujjukujju n’amutwala ku poliisi eyamuggalidde.

SSEMAKA Noorudin Kiyemba (ku ddyo) atabukidde omuvubuka gwe yagwiikirizza ng’agezaako okufera mukazi we, Hadijah Nabakooza okumunyagako ssente mu lukujjukujju n’amutwala ku poliisi eyamuggalidde.

Alamanzan Kasule 21 abeera ku kyalo Kitosi e Nkozi mu Mpigi ebigambo gwe byazze ku matama ng’agaggaliddwa ku poliisi y’e Lukaya.

Yamusanze mu maka gaabwe e Lutente mu kabuga k’e Lukaya ng’awudiisa Nabakooza amusasula 66,000/- alyoke amwambululeko eddogo erimuliko.

Nabakooza yategeezezza nti Kasule yamweyanjulidde ng’omusawo w’ekinnansi akebeza ebisirinza n’ategeera ebizibu by’omuntu n’endwadde ezimuliko nga tasoose kubimubuulira ng’era alina okumunuunamu eddogo era bw’atakikola ajja kufa.

Kasule bwe baamukutte, yakkirizza nti aliko amaanyi ga lubaale w’ekika agamukozesa bino n’agaana okubikolera mu maaso ga poliisi nga yeekwasa nti ‘empewo’ zazzeeyo dda eka.

Yaggaliddwa ng’agguddwaako omusango gw’okusaalimbira mu maka ga Kiyemba n’okugezaako okufera omuntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...