TOP

Mzee Bakiddaawo bamubbyeeko Princess Amirah; Alaajanye

Added 30th January 2017

Mzee Bakiddaawo bamubbyeeko Princess Amirah; Alaajanye

MUZEEYI Bakiddaawo (mu katono) akola ku leediyo emu, omwogezi w’oku mikolo ng’era ye maneja w’omuyimbi Princess Amirah ali mu maziga.

Omuyimbi we Amirah Kiwummulo gwe yalonda n’amuteekamu ssente okumufuula omuyimbi ow’erinnya amudduseeko.

Kigambibwa nti waliwo omuyimbi omunene mu bbandi emu erina amaka mu bitundu by’e Makindye amwesimbyemu ng’amupokera omusimbi n’okumusuubiza okumuwa ogufo mu bbandi.

Batugambye nti Amirah alina omukozi wa Ttivvi emu mukwano gwe akola nga kayungirizi nga n’olumu baali bagenze e Makindye okukutula ddiiru y’okuyimba ku mikolo n’amuleetera ssente omunene we ze yali amuwadde.

Kuno yagattako n’okumupangira omuyimbi ono n’amuyimbirako mu kivvulu kya ‘‘Sibookya ndi mu Love’’ ekyali ku Club Obligatto omwaka oguwedde.

Bwe twakubidde Muzeeyi Bakiddaawo yagambye nti, ‘‘ebyo sibimanyi era omuyimbi wange tannaba kubintegeezaako naye bw’aba bw’asazeewo wa ddembe kubanga muntu mukulu’’. Ye Amirah bino yasoose kubyegaana nti kyokka n’ategeeza nti bw’aba afunamu talaba nsonga eyinza kumulemesa.

Bwe twayongedde okumubuuza oba anaagenda ne maneja we ku mulimu omupya n’ategeeza nti nedda. Bino we bijjidde ga ne Hajji Haruna Kitooke akaaba olwa Charles Ssekyewa okuddukira mu Golden Bandi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...