TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Omuyimbi 2 Face Idibia tatuuse okukwata Eddy Kenzo mu liiso?

Omuyimbi 2 Face Idibia tatuuse okukwata Eddy Kenzo mu liiso?

Added 31st January 2017

OMUYIMBI 2 Face Idibia ow’e Nigeria ayise Rema Namakula agende amukyalireko bakoleyo n’oluyimba (kolabo), okukola vidiyo z’ennyimba ze bakoze n’okusisinkana abayimbi abalala ab’amannya mu Nigeria nga Techno.

 2 Face Idibia ne Rema Namakula

2 Face Idibia ne Rema Namakula

Omanyi Rema Namakula yakwatagana ne 2 Face bwe baali mu Coco Studio e Nairobi ne banyumirwa obulamu ng’oyinza okulowooza nti baali baalabagana dda.

2 Face yacaaka nnyo mu Afrika bwe yakuba oluyimba lwa ‘African Queen, Officially Blind, Oya come make we go’ n’endala.

Ate bwe baabadde mu Coco Studio mu September 2016 baakoze bonna oluyimba oluyitibwa ‘Can’t Wait’ ekitegeeza sisobola kulinda.

Alina n’oluyimba lwa Rema oluyitibwa ‘Kirungi’ lwe yaddamu ate ne lunyuma.

Wabula abamu ku banywanyi ba Eddy Kenzo oluwulidde amawulire gano ne batyamu nga bagamba nti omusajja nga yeesibye mu mukyala wa munne?

Tamukuba bbusu? Kyokka Maneja we, Godffrey Kayemba yagambye nti ekyo tekisoboka kubanga naye agenderako ng’era tebasobola kusubwa mukisa nga guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu