
Maureen Nantume mu bifaananyi
Omuyimbi Maureen Nantume ataddeko ebifaananyi ku feesibuuku ebimulabisa nga bbebi abawagizi be ne bamuwaana nga bw'akyali embooko.
Abalala baabitebezza nga bw'atakyaleebuukana na baggya be y'ensonga lwaki asase omubiri n'akanyiriro.
Omanyi gye buvuddeko, Nantume abadde mu lutalo lw’okwefunza omusajja wakati we ne muggyawe nga bakaayanira Ronnie Muganza eyaakazaala mu Nantume omwana.
Muganza akulira Beekeeri y’emigaati gya Kiddawalime yayanjulwa Nantume nga April 16, 2015.
Nantume baamugatta ku bakazi abalala okuli Sharot Kiggundu ow’e Nansana ne Nana Mukamunana enzaalwa y’e Rwanda kyokka nga naye asula Nansana.
Olutalo omwaka oguwedde (2016) lwatandika amangu ddala nga Nantume ayanjudde olwo Sharot n’atabuka nti Nantume yali yeefunzizza omusajja n’amwerabiza n’abaana be nga takyagenda Nansana kubalaba.
Ate olwo ne Nana n’atabuka n’awagirwa ne banne ab’e Rwanda nga bagamba nti Omuganda yeefuze omusajja waffe.
Nantume yafulumizza oluyimba lwa lwe olupya lw'atuumye 'Malidaadi' kyokka tetumanyi oba awaana musajja we Muganzi oba yayimbidde bawagizi be.