TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Chameleon atutte Pulomoota Sipapa ku Poliisi: 'Atiisatiisa okunzita'

Chameleon atutte Pulomoota Sipapa ku Poliisi: 'Atiisatiisa okunzita'

Added 29th March 2017

OLUTALO lubaluseewo wakati w’omuyimbi Jose Chameleone ne pulomoota w’abayimbi era mukwano gwe nfa nfe, Charles Oryem amanyiddwa nga Sipapa owa Sipapa Entertainment.

OLUTALO lubaluseewo wakati w’omuyimbi Jose Chameleone ne pulomoota w’abayimbi era mukwano gwe nfa nfe, Charles Oryem amanyiddwa nga Sipapa owa Sipapa Entertainment.

Embeera eno eviiriddeko Chameleone okuddukira ku poliisi gy’aloopye Sipapa omusango gw’okumutiisatiisa okwagala okumutta.

Ku Mmande, Chameleone yasoose ku poliisi ya CPS mu Kampala ne bamuwa amagezi omusango aguloope e Katwe awali ofiisi z’ekitebe kya poliisi ya Kampala South ebatwala.

Olwavudde ku CPS, Chameleone yasibidde Katwe mu ofiisi ya Flying Squad n’abategeeza ng’obulamu bwe bwe buli mu matigga olwa Sipapa okumutiisa okumutta.

Kuno yagasseeko okusaba poliisi enoonyereze ku Sipapa, abamu gwe bayita omugagga omuto, ezuule gy’aggya ssente z’amansa n’okugula emmotoka ez’ebbeeyi z’avuga kuba ye (Chameleone) amumanyi ng’omuntu atalina mulimu gw’akola.

D/ASP Andrew Mike Otekat, omumyuka w’akulira ekitongole kya Flying Squad ku poliisi y’e Katwe yagambye nti Chameleone yabategeezezza nga Sipapa bw’amukubira amasimu ekiro ng’amutiisatiisa okumutta era poliisi yagguddewo fayiro GE 48/2017 okunoonyereza ku nsonga zino.

Otekat yagambye nti Sipapa anoonyezebwa nga mu kiseera kino omuyimbi Serena Bata mukyala we ne Melody (Mansoor Kakooza) abaasangiddwa awaka baasoose kukwatibwa kyokka oluvannyuma ne bayimbulwa.

Babiyingizzamu Daniela

Omu ku mikwano gya Chameleone ne Sipapa ataayagadde kumwatuukiriza mannya agamba nti obuzibu buvudde ku Daniella Atim mukyala wa Chameleone agambibwa okuba nti yanoba gye buvuddeko oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne Chameleone ku nsonga ezitali zimu.

Bukya Daniella ava Sseguku yasalawo okwesonyiwa Chameleone n’essimu ze tazikwata kyokka ekyamwewuunyisizza (Chameleone) kwe kuwulira nti Daniella ayogerezeganya ne Sipapa ne mukyala we Serena Bata kwe kubateebereza okuba emabega w’okumutabulira amaka.

Wadde Sipapa yakkirizza ekya Daniella okuba emu ku nsonga ebatabudde yagaanyi okubaako ky’ayogera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...