
OMUYIMBI Florence Namirimu ennaku zino aliisa buti bw’afunye olulenzi olumunaazizzaako amaziga oluvannyuma lw’eyali muganzi we Ssewandagi okusaasaanya akatambi ke yamukwata ng’ali bukunya ku mukutu gwa Face book.
Namirimu yavaayo ne yeegaana akatambi kano era kigambibwa nti kino kye kyamuleetera okumukyawa. Kati yayingizzaawo olulenzi olupya, Salim Sseruyima era w’osomera bino nga yamaze dda okumutwala ewa ssenga we eyamukuza Benarete Nakiwu (mu katono) e Busega Kibumbiro n’amumwanjulira kyokka nga balina omukolo omunene gwe bateekateeka mu maaso eyo.
Salim ye musajja alabikira mu vidiyo y’oluyimba lwa Namirimu olumanyiddwa nga ‘‘Kansumulule ebyange’’.