TOP

Olutalo lwa Chameleone ne Sipapa lusajjuse

Added 6th April 2017

MUKYALA wa Jose Chameleone, Daniella Atim ayongedde okutabula Chameleone ne mukwano gwe amussaamu ssente era pulomoota Sipapa ng’amannya ge amatuufu ye Charles Oryem, Chameleone bw’asazeewo okwanika ebyama ku Sipapa.

 Sipapa nga bwe yalabise eggulo mu situdiyo ye Mutungo - Bbiina. Ku ddyo, Agambibwa okuba Sipapa ku kabangali ya poliisi gye buvuddeko.

Sipapa nga bwe yalabise eggulo mu situdiyo ye Mutungo - Bbiina. Ku ddyo, Agambibwa okuba Sipapa ku kabangali ya poliisi gye buvuddeko.

Chameleone yasoose kutegeeze nga Sipapa bw’ali omubbi ate omufere era yejjusa ebbanga ly’amaze ng’akolagana naye nti okuva lwe yakizuula nti muntu mukyamu n’amwesalako.

Bwe yamaze ebyo, n’assa ebifaananyi bye yayise ebya Sipapa ku peegi ye eya Facebook, nga biraga omuntu gw’agamba nti ye Sipapa ng’agudde ku kkubo n’ebinuubule agyibwawo abaserikale ba poliisi.

Chameleone yagambye nti ebifaananyi byamukubiddwa mu bitundu by’e Kololo gye baamukwatidde mu bubbi ne bamukuba ne bamwambulamu n’essaati olwo amagulu n’emikono nga bibunye omusaayi.

Omuserikale wa poliisi yabadde amuggya mu mufulejje ogwazika nga kigambibwa nti gye yabadde addukidde okwetaasa ku baabadde bamukuba.

Oluvannyuma omuntu y’omu yalagiddwa ng’assiddwa ku kabangali ya poliisi emutwala.

Serena Bata mu kivvulu kya Chameleone ekya Wale Wale e Lugogo.

Sipapa ayogedde;

Eggulo Sipapa yatuukiriddwa n’agaana okubaako ky’ayogera wabula oluvannyuma n’agamba nti, nze bampalana lwa kuwa bantu buyambi naye sijja kulekera awo kuwa bali mu bwetaavu, sirina birala.

Mukyala wa Sipapa ayogedde;

Wabula Serena Bata nga ye mukyala wa Sipapa yayombye olwa Chameleone okulumiriza bba mu bye yayise okuyiiyiriza ebifaananyi olw’okuba amulinako empalana.

Serena yagambye nti, kati Chameleone bw’abeera alumiriza Sipapa nti mubbi ate nga babeera bombi buli kiseera ne ssente Chameleone akozesa za Sipapa, kitegeeza nti ne Chameleone mubbi.

Wano we yagambidde nti agenda kwanika obuziina bwa Chameleone bakakase nti Sipapa bw’aba mubbi ne Chameleone bw’ali mu ngeri ya mbuulira gw’oyita naye nkubuulire empisa zo.

Awo we yabuulizza nti, ‘mumanyi lwaki Chameleone yalwala ebigere, kati mulinde emboozi gye baabikubira.’

Serena yabadde ayogera ebyo nga bwe yeewuunya ebifaananyi bya Chameleone ebiraga Sipapa ng’alina ebinuubule kyokka nga we byafulumidde yabadde waka nga si mulwadde ne yeewuunya Chameleone gye yabipangidde.

Chameleone ne Daniella ku kamu ku bubaga bwa Chameleone obw’amazaalibwa. Baali ku Club Silk.

 

Chameleone yasooka kuwaabira Sipapa ku poliisi;

Gye buvuddeko Chameleone yawaabira Sipapa ku poliisi e Katwe nti ayagala kumutta.

Wabula Sipapa yategeeza nti, ekiruma Chameleone, ye mukyala we Daniella okunoba n’agaana okudda awaka.

Olw’okuba Sipapa y’amulabirira, Chameleone n’ategeeza nti, Sipapa y’amujeemesezza okudda awaka.

Wano Serena w’agambira nti Chameleone yeewerera dda okwonoona erinnya lya bba okutuusa nga Daniella azzeeyo e Sseguku.

Omwezi oguwedde Chameleone yakoze vidiyo ne Serena Bata ey’oluyimba ‘Omumbejja’ Chameleone mwe yabadde ng’omupakasi akwana Omumbejja (Serena) era nga Sipapa ye yataddemu ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...