TOP

Babakutte baziika omwana mu nkukutu

Added 14th May 2017

Babakutte baziika omwana mu nkukutu

 Nabulya akuuma ebiggya ng’assa omulambo gw’omwana ku kabanga ya poliisi.

Nabulya akuuma ebiggya ng’assa omulambo gw’omwana ku kabanga ya poliisi.

ABAZADDE basse omwana waabwe abatuuze ne babatebuka nga bamuziika mu nkukutu ne batemya ku poliisi ebakutte. Poliisi y’e Mpigi abazadde ebasanze basima entaana baziike omwana waabwe ow’emyaka ebiri era bwe bagirabye ne badduka omulambo ne baguleka awo.

Abadduse ye taata w’omwana eyabadde aziikibwa Meddie Ssenyondwa ow’e Bunjako mu Mpigi ne nnyina nga bano bateeberezebwa okuba nga basse omwana abadde Ssenyondwa omulambo ne bagutwala ku kyalo Njujjuwe poliisi gye yabasanze nga baguziika.

Kigambibwa abazadde bano omulambo baaguggye ku kyalo Bunjako ng’abatuuze tebabategeezezza ku kufa kw’omwana gwe babadde balaba bulijjo ng’azannya ne bagutwala okuguziika gye baabasanze. SSenyondwa bwe yadduse poliisi yawaliriziddwa okukwata muganda we David Mubiru gwe baasanze ne nnyina omuto abeera ku kiggya we baabadde bagenda okuziika Teddy Nabulya ne batwalibwa poliisi y’e Mpigi bagiyambeko mu kubuuliriza.

Nabulya olwakwatiddwa n’agamba nti yagezezzaako okubalemesa okuziika nga tebasoose kutegeeza ba LC kyokka ne bamusinza amaanyi ne bagenda mu maaso n’okusima.

Yagambye nti ye yabuulidde ssentebe waabwe ow’ekyalo ng’atidde olw’omwana okuba nga baamuleese bokka nga tebalina wadde ebbaluwa oba omuntu omulala abagoberedde era ssentebe ye yabuulidde poliisi.

Poliisi bwe yakebedde omulambo yagusanzeeko ebiwundu ebinene ku mukono n’emabega era Mubiru n’ategeeza nti kitaawe ye yamukuba n’afa ng’amutwala mu ddwaaliro. Poliisi yategeezezza nti enoonya Ssenyondwa ne mukyala we bavunaanibwe okukuba omwana waabwe ne bamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...