TOP

Katongole, ono ye musika wa Titie?

Added 20th June 2017

KATONGOLE Omutongole kirabika akooye empewo y’ekiro nga mu kiseera kino ali mu kuyigga musika wa Titie Tabel.

Katongole twamuguddeko mu wooteeri emu e Masaka ng’alina mukozi munne gw’apepeya naye.

Bwe yalabye owa kkamera n’afubutuka ekikumi kyokka omuwala mannya omukazi n’amukwata n’amunyweza nga bw’aseka.

Katongole yagezezzaako okwerwanako ne bimulema kwe kwekweka mu kifuba ky’omuwala ng’agamba nti waakiri bakube akabina.

Owoolugambo waffe atugambye nti omuwala ono yawuliddwa ng’agamba nti Katongole guma batukube ebifaananyi kasita Titie wamukyawa ate baamukubye n’embaga.

Wabula Katongole oluvannyuma yeekazizza n’ategeeza nti ono mukozi munne ku leediyo era tebalina nkolagana yonna.

Oba baabadde bakola ki mu wooteeri gye twabasanze? Nze naawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...