TOP

SK Mbuga bagenda kumulongosa omulundi ogw'okubiri

Added 25th June 2017

Ku Lwokutano, Katikkiro wa Buganda Charlse Peter Mayiga yamulambudde ate ku Lwomukaaga Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga naye yamulambuddeko namugumya.

 Kadaga ng'alambula ku Mbuga mu ddwaliro e Nakasero

Kadaga ng'alambula ku Mbuga mu ddwaliro e Nakasero

Bya Martin Ndijjo

Oluvannyuma lw'okumulongoosa amagulu wiiki ewedde nga n'embeera yeyongedde okulongooka, Omugagga SK Mbuga nate abasawo basazeewo bagenda kuddamu okumulongosa omulundi ogw'okubiri era ku luno bagenda kukola ku mukono gwe ogwa kkono ogwamenyeka.

Mbuga eyagwa ku kabenje oluvannyuma lwa ddigi kika kya R 1200 GS ADVENTURE 2017 gye yaali yakagula okumulemeerera nga wakayita ssaawa biri ng'amazze okugisasula n'emukuba ekigwo katono emutte.

Abuddal Ssengoba mukwano gwa Mbuga omu ku bamujjanjaba mu ddwaaliro e Nakasero ategeezezza nti wiiki ewede Mbuga bamulongosezza ebisambi byombi olw'amagumba agamenyeka ne bamusibamu ebyuma okusobola okuyunga kati wiiki etandika enkya bagenda kumulongosa omukono ogwasigalira kubanga baali tebasobola kubirongosa byonna mulundi gumu.

 

Bbo abantu ab'enjawuulo omuli ab'oluganda emikwano wamu n'abanene mu ggwanga bagenda mu maaso n'okumulambula mu dwaaliro nga bwe bamusasiira n'okumusabira awoone mangu.

Ku Lwokutano,  Katikkiro wa Buganda Charlse Peter Mayiga yamulambudde ate ku Lwomukaaga Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga naye yamulambuddeko namugumya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...