
Omukulu ono abadde amaze ebbanga nga talabika nga n’abamu balowooza nti osanga yava mu kisaawe ky’okuyimba.
Aleese akayimba akapya ke yatuumye Kookoonyo. Mu luyimba luno ayogera ku bakyala abamanyifu abazze nga bakola obutambi bwabwe obw’obuseegu abantu ne babulaba okuli Desire Luzinda, Zari n’abalala era nti alinze mulala anaavaayo okukookoonya ku bintu bye nga byonna biri mu luyimba luno.
Mu vidiyo y’oluyimba luno, mulimu byanabiwala ebyamyuka obwedda ebimukookoonya yenna n’aggwaamu.
Vidiyo eno yagikoledde ku Club Liquid e Makindye era efuluma ku Mmande.