TOP

Omubaka Lugoloobi engatto zimwokya?

Added 26th July 2017

OMUBAKA w’abantu b’e Kayunga mu Palamenti, Amos Lugoloobi alese abamu ku balonzi be nga beebuuza oba ebigere bye birwadde oba engatto ze yayambadde ze ntono nga zimunyiga.

OMUBAKA w’abantu b’e Kayunga mu Palamenti, Amos Lugoloobi alese abamu ku balonzi be nga beebuuza oba ebigere bye birwadde oba engatto ze yayambadde ze ntono nga zimunyiga.

Omubaka ono yabadde ku mukolo gw’okutikkira abayizi mu by’obulimi, obulunzi, okutunga n’ebirala mu ttendekero ly’Obulabirizi bw’e Mukono erya Centenary College e Kayunga.

Yatudde kumpi ne minisita w’Ebyenjigiriza ebyawaggulu, John Chrizostom Muyingo kyokka yalabiddwa ng’aggyemu engatto asigadde mu sitookisi.

Owoolugambo waffe atugambye nti abazadde n’abayizi olwalengedde ng’aggyemu engatto ne bafunamu okutya nga bagamba nti tezibaamu akawoowo ne zikosa minisita n’abagenyi abamwetoolodde n’okugamba nti si kya bugunjufu okweyambulira mu bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...