
Cindy ng’annyonnyola abaamawulire ku kitebe kya Vision Group ku kivvulu ky’ategese. Ku kkono ye McKenzie owa Urban TV.
D’zyre Derekfod Mugumisa avunaanyizibwa ku kutumbula Urban TV agambye nti bagenda kuwagira ekivvulu kya Cindy nga bakunga abawagizi be n’abalabi ba Urban TV okwetaba ku kivvulu kino.
Ategeezezza nti abalabi ba Urban TV banyumirwa emiziki gy’omuyimbi Cindy era y’ensonga ebawalirizza okuwagira ekivvulu kye.
Cindy Sanyu asiimye enkolagana etuukiddwaako n’agamba nti awulira nga munene olwa kkampuni ya Vision Group okuvaayo n’emussaamu obwesige.
Abasuubizza okubawa ekyenjawulo omuli amazina agaakabi, abayimbi okuva ebweru w’eggwanga n’okubalaga obwambalo obw’akabi.
Asabye abawagizi be okweyiwa ku Imperial Royal mu bungi abalage ky’aludde ng’afumba.