TOP

Hoo...ataakulaba

Added 26th September 2017

Hoo...ataakulaba

EMYAKA 14 emabega, Omuraasi Bebe Cool (Moses Ssali ku kkono) yankulemberamu ne tugenda ewa ddiisi ne tukuba ebiragaano eby’okubeera ffembi mu bufumbo. Omukolo gwali ku Crane Chambers mu Kampala nga September 12, 2003.

Noolwekyo tewali nsonga lwaki nkweka essanyu. Twali baana bato Omuraasi wange n’ansuubiza ensi n’eggulu mu bufumbo.

Ndi musanyufu nti ku bisuubizo bye, atuukirizza ebitundu 90 ku 100 kubanga andabiridde bulungi, ankuumye era nkimanyi ye musajja yekka gwe bayinza okukuba essasi ku lwange ate afuba okuteeka akamwenyumwenyu ku ffeesi yange. Bebe bulijjo ang’amba nti ayagala tukole embaga endala nga twambadde bulungi era ngirindiridde.

Kyokka mu kiseera kino nga tujaguza emyaka 14 mu bufumbo n’abaana 5 nga tusuubira ow’omukaaga, nsaba Allah atukuume, atuwe obulamu, okukuuma abaana baffe n’okubalung’amya mu buli kye bakola. Zuena mukyala wa Bebe Cool bwe yamuwaanye. Obubaka yabutadde ku mukutu gwe ogwa Face book.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...