TOP

Brian Whites alaze ssente n'agoba Jack Pemba mu bbaala

Added 2nd October 2017

Brian Whites alaze ssente n’agoba Jack Pemba mu bbaala

“VVA mu bigambo yogeza ssente bw’oba tolinaamu weeyiiye awalala. Brian Whites nze aliko kati.” Bino bye bimu ku bigambo mwana mulenzi Brian White amannya ge amatuufu Brian Kirumira obwedda gwe bayita ‘omugagga omuto’ bye yakozesezza wakati mu lutalo lw’ebigambo olwagobye omugagga Jack Pemba mu bbaala.

Brian White yatuuse ku bbaala ya Fusion Auto-Spa e Munyonyo ku ssaawa 3:00 ez’ekiro era yatuukidde mu ‘kuddugaza’ mmeeza gye baamuteereddewo ne mikwano gye. Waayiseewo essaawa emu, Pemba n’ayingirawo.

Pemba yayise akulira ekifo kino n’amusaba amutereereze ekifo kyokka n’akamutema nti abaliwo nabo baasasudde n’amufunira ekirala kye yagaanyi n’agenda. Ekikolwa kya Pemba kyanyiizizza Brian White n’abantu be ne balangira Pemba ebizibu by’alimu omuli n’amabanja agamutuulidde.

Pemba yalabye abavubuka obwedda b’ayita abaana bamuyisaamu amaaso kwe kukoona ku banne ne bafuluma. Ne Brian White kye yakoze kwe kusikayo akavangata ka ssente n’atandika okuzigabira abantu n’okuzimansa. Yajereze Pemba (mu katono) okwekwasa ekifo ng’ate yatidde kumusoomooza nga talina ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...