TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Omuvubuka agambibwa okufera omugagga Bryan White mumawulire bamukutte

Omuvubuka agambibwa okufera omugagga Bryan White mumawulire bamukutte

Added 10th October 2017

Omuvubuka agambibwa okufera omugagga Bryan White mumawulire bamukutte

 Omugagga Bryan White ng'ala ekifaananyi ky'omuvubuka eyamututte mu mawulire nga tafa ku maama we kyokka ng'ali mu kibua agaba ssente kyokka nga Bryan agamba nti maawe we yafa dda mu 97

Omugagga Bryan White ng'ala ekifaananyi ky'omuvubuka eyamututte mu mawulire nga tafa ku maama we kyokka ng'ali mu kibua agaba ssente kyokka nga Bryan agamba nti maawe we yafa dda mu 97

OMUVUBUKA eyeeyise muganda w’omugagga Bryan White n'amulumiriza obutayamba maama waabwe bamukutte n’alajaana “munsonyiwe siri muganda we mbadde munoonya ampe ku buyambi nga bwemulaba agabira abalala”

Michael Kirabira akwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okwekubya mu lupapula lw’amawuulire olumu nga agamba nti muto wa Bryan White era amwewuunya okulaba nga amansa ssente n'atafaayo kuyamba nnyabwe apooca n’ekirwadde kya ssukaali mu kyalo e Mityana ate nga yatunda ebibye okulaba nga Bryan agenda ebweru gye yafuna ssente.

Omugagga Bryan White ng'ala ekifaananyi kya maama gw'agamba nti yafa dda mu 1997 kyokka ng'omuvubuka agamba mbu ali mukyalo Bryan tamufaako ali mu mbeera mbi ssaako n'okutawaanyizibwa ekirwadde kya sukaali

Amawulire gano gatabudde Bryan White obwedda akutte ekifaananyi kya maama we omugenzi Gladys  Nasaazi gw’agamba nti yafa mu 1997 ne bamuziika Kimanya e Busunju era nti Jane Nabaweesi,  Kirabira gw’ayogera yeetamumanyi.

Oluvannyuma lwa Bryan White okwekengera Kirabira okubeera n’ekigendererwa ky’okumwonoonera erinnya yeekubidde enduulu ku poliisi abakoze okunoonyereza ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi y’e Katwe.

Omuvubuka agambibwa okwogera kalebule ku mugagga Bryna White nga poliisi emukutte okumubuuz akana n'akataano

Mu kulaajana, Kirabira agambye nti abantu ababadde bamufaananya Bryan White nga n’olumu bamuyita Bryan White n’okumusaba ssente be bamukozesa ensobi eno.

“Ekituufu siri muganda wa Bryan White bamuzaala Mityana nze banzaala Butambala bazadde bange be bagenzi Badiru Kigozi ne Jane Nabaweesi lwakuba nti Bryan White twakulira ku kitundu kye kimu ku Saalama Road. Obuzibu nti okuva lwe yafuna ssente abadde tatuukikako kwe kupanga nga mpita mu mawulire ndabe engeri gye nnyiza okumutuukako ampe ku ssente.”

Wadde Kirabira yagezezzaako okulaajana n'atuuka n’okufuukamira nga ayagala bamusonyiwe, Bryan White yagaanye nga agamba nti ayagala poliisi enoonyereze kubanga omuvubuka ono yandiba nga alina abantu abaamutumye okumwonoonera erinnya.

Yagasseeko nti abavubuka nga bano abatayagala kukola ne balowooleza mu kufeera abantu be bavumaganya ne gavumenti ya pulezidenti Museveni.

“Bino byembadde mbagamba nti mu Uganda tukyalinamu abantu ab’emitima emibi ng’ono omuvubuka . simumanyi kyokka ye aneesibyeko a nyonoonera erinya era bano Gen. Salim Saleh be yabadde ayogerako bwe nnamusisinkanye nti ne bwe nayamba abantu nga mbawa ssente tebagenda kusiima era ngenda kutwala amagezi ge ag’okukulaakulaanya abantu nga mpita mu by’obulimi”

Ye RPC wa Kampala South Hajji Siraje Bakaleke akakasizza okukwatibwa kwa Kirumira ategeezezza nti bagenda okunoonyereza bazuule ekigendererwa kye. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...