
Etuumiddwa ‘Ekirya Atabaala’ ng’ekutuusibwako okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano ku mikutu gya Bukedde Fa Ma okuli: 100.5 Kampala, 106.8 Masaka ne 96.6 Mbarara.
Ejja kubeerangawo okuva ku ssaawa 9:00 okutuuka ku 11:00 ez’akawungeezi.
Egenda kuweerezebwa kafulu mu kunoonyereza ebyafaayo n’ebyobufuzi, Bashir Kazibwe Mbaziira.
Mu kiseera kye kimu Bukedde Fa Ma ekoze enkyukakyuka mu Pulogulaamu ya Washing Bay (Bakanaabe) ng’ebadde etandika ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo okutuusa ku 1:00 kati y’akutandika ku 11:00 okutuuka 1:00 eyakawungeezi.