TOP

'Ssegawa, twasomoka Lwera tuve mu mpalana tukole'

Added 1st November 2017

‘Ssegawa, twasomoka Lwera tuve mu mpalana tukole’

KYADDAAKI abayimbi Matthias Walukagga ne Vincent Ssegawa bakomezza ebya ‘gundi ondoga, sisobola kukukwata mu ngalo wadde okuyimba naawe ku siteegi emu’’ ne beegwa mu kifuba n’okwesika mu mikono nga bwe bagamba nti kati ne bw’obawa emmere ku ssowaani emu bagirya ng’eno bwe balasa oluboozi n’ebakka bulungi mu ntumbwe. Abayimbi bano baludde nga tebalima kambugu nga beekwasa omu okubba mukazi wa munne, okumulyamu olukwe n’ebirala.

Lumu Rev. Fr. Joseph Lugobe owa St. Agnes e Makindye yagezaako okubatabaganya nga basabira omugenzi Herman Basudde ne beerema. Ku Lwomukaaga enduulu yasaanikidde Bat Valley Theatre, Walukagga ne Ssegawa bwe bazzeemu okulinnya ku siteegi emu ne bakuba omuziki.

Ekyaddiridde Minisita w’Ebyemizannyo n’abavubuka e Mmengo, Henry Ssekabembe Kiberu kujja ku siteegi n’abagatta ne beesika mu mikono n’okwegwa mu kifuba okulaga nti embiranye eweddewo.

Yabasabye kino kye baakoze mu nnamungi w’omuntu kibeere kya ddala beewale okuddamu okuyombera mu kkubo.

Baabadde mu kivvulu kye baatuumye ‘‘Basisinkanye mu kkonde evvannyuma’’ nga bali ne bannakatemba ba Bakayimbira Dramactors omuli: Charles Ssenkubuge ne Andrew Benon Kibuuka wamu n’aba Ssuubi Entertainement ekikulirwa Hajji Ashraf Ssemwogerere.

Minisita yagambye nti abayimbi bano bakoze kinene okusomesa abantu n’okukyusa eggwanga nga bayita mu nnyimba n’abasaba okukomya entalo.

Yaboogeddeko ng’abalanzi abafuna okwolesebwa kw’ebiriwo n’ebirijja era abalwanirizi b’eddembe. Yabasabye okukomya obucaayi n’entalo. Wabula abantu baavuddeyo nga bagamba nti kabasuubire nti tebali ku malya nsimbi. Kibuuka yagambye nti bakyaliyo ku Bat Valley Theatre wiikendi eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...