
Omukulu ono olwatuuse ng’agenda mu kabaala akamu e Nansana mu Kibogo ng’akoona bbidde.
Ssente bwe zaamuweddeeko, yasigadde asaba omwenge okukkakkana ng’anywedde gwa 700/- kyokka nga takyalina nnusu.
Yalabirizza nnannyini bbaala ng’afulumyemu naye n’afuna waawetera nga talina zaakusasula.
Nnannyini bbaala olwakomyewo munda n’asanga nga taliimu kwe kumunoonya era yamusanze atuuse e Nansana mu Masitoowa n’amukwata amataayi ng’amugamba nga ssente ze bwe zitaliika.
Yamusikambudde eno nga bw’awalira ng’embuzi gye batwala ku ttale okutuusa bwe yamuyisizzaamu empi.
Wabula ne Ssebunya teyaganyizza mukulu ono kumujooga atyo naye kwe kutandika okumukuba empi era olutalo we lwatandikidde.
Omusuubuzi eyabadde mu katale k’e Nansana ak’omubuulo ye yataasizza Ssebunya n’asasula omukazi 700/- ze yabadde abanja era bwatyo ne yeeyongerayo.