TOP

Bayiye kaasi mu kwanjula kwa Mutiibwa ne Kinene

Added 17th November 2017

Enkiiko ezitegeeka okwanjula kwa Doreen Mutiibwa ne Michael Kinene aba Golden bandi zitandikidde mu ggiya, abawagizi bayiise mu lukiiko olusoose ne betama nobukadde 42,766,600/-

Kinene ne Mutiibwa nga batuuka mu kifo awabadde olukiiko oluteekateeka okwanjula kwabwe

Kinene ne Mutiibwa nga batuuka mu kifo awabadde olukiiko oluteekateeka okwanjula kwabwe

ABAWAGIZI ba Doreen Mutiibwa ne Michael Kinene abayimbi aba Golden bandi bayiise mu lukiiko olutegeka okwanjula kwabwe ne betama obukadde 42,766,600/-

Ku ssente ezo, 2,450,000/- zaasondeddwa mu buliwo mu lukiiko olwasoose nga lwatudde ku Muganzirwazza e Katwe ku Lwokuna.

Emikolo gya kubaawo nga 14 December, 2017 e Zirobwe- Kyetume mu maka ga Dr. Male William Mutumba.

 

Ssentebe w’olukiko olutegeeka omukolo, Hajji Issa Musoke yasoose kukudaalira bayimbi bannaabwe, Catherine Kusasira ne bba Fred Sserugga bwe yagambye nti ebyabwe bwe biba bikyalimu amakuuli, kabamalirize ebya Bamutiibwa bo babatwale nga kyakulabirako.

Abagole baasoose kwogera nti bo balinawo obukadde 22 kwe baasabye abawagizi baabwe babongererezeeko.

Hajjati Faridah Stecia Mayanja ng'alaga ssente emitwalo 50 ze yawaddeyo

 

Omukolo gwabadde nga kivvulu omwabadde okunywa n’okulya ng’abayimbi omwabadde Queen Florence, Catherine Kusasira, Rebecca Jjingo, Sophie Gombya, Carol Nantongo n’abalala bwe bayimbira abasonda  ssente.

Flavia Namulindwa, Fifi Da Queen aba Bukedde TV ne Rebecca Jjingo be baabadde bayamba ku Issa Musoke okukikwasaganya ng’enjogera bw’eri.

Fifi Da Queen ne Flavia Namulindwa aba Bukedde Tv nga basala dansi

 

Abamu ku baawaddeyo n’okwetema; Catharine Kusaasira- 2,000,000/-, Musa Kavuma- 1,500,000/-, Mesach Ssemakula- 1,000,000/-, Maureen Nantume- 1,000,000/-, Sarah Nakayi (mukya wa Ssemakula) 1,000,000/-, Stecia Mayanja 500,000/-, Ttiimu Doreen mutibwa 500,000/-, Moses Matovu 500,000/-, Maneja Jimmy 500,000/- Hajjati Janate Ssempala ddoola 50, n’abalala.

Mesach Ssemakula yayoozezzaayoozezza abagole olw’ebbanga lye bamaze nga beekumidde wamu ne batawuuliriza ng’ambo zaawula bafumbo.

Sophie Gombya(ku kkono) Sarah Nakayi muka Mesach Ssemakula (ow'okubiri ku ddyo) ne Maureen Nantume

 

Mutiibwa ne Kinene bamaze emyaka 14 nga bagalaana, balina abaana babiri. Mu June wa 2016, Kinene yakyala mu maka ga bazadde ba Mutiibwa.

Okuva ku kkono; Hajji Isa Musoke, Musa Kavuma ne Mesach Ssemakula

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...