
Kenzo ne awaadi gye yawangudde
EDDY Kenzo amezze Diamond Platinumz mu awaadi ezibadde e Nigeria. Ono yawangudde awaadi bbiri mu Afrima Awards ezaabadde e Nigeria gye buvuddeko era n’awaga. Afrima Awards ekigwaayo 'All Africa Music Awards'
Engule zino zigatta abayimbi ba Afrika bonna era ez’omulundi guno zaabaddeko n’omuyimbi awangalira mu America amannyiddwa nga Akon ku wooteeri ya Eko e Nigeria.
Yawangudde engule y’omuyimbi asinga okukooka mu bukiika ddyo bwa Afrika (East Africa) ate endala yabadde ya lutambi olusinze giyite Album.
Yabadde avuganya ne Diamond Platinumz, Alikiba nga bonna yabamezze. Ng’ayita ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook' yeebazizza abawagizi be bonna mu nsi.
Bebe Cool ne Juliana Kanyomozi nabo baavuganyizza wadde tebaawangudde.