
Kino twakirabidde ku mukolo gw’okuggulawo essomero lya Shammah High School e Mityana gye buvuddeko.
Ggwanga ku mukolo yatuuseeyo kikeerezi n’asabirawo akazindaalo okuwa obubaka bwe.
Bwe yatuuse ku katuuti n’asaba akatebe n’ayogera ng’atudde era olwamaze teyazzeeyo mu kifo kye n’afuluma ekidaala n’agenda.
Wano abantu we baatandikidde okwekuba obwama nga beebuuza nti Kasirye Gwanga aweddemu ggaasi oba mulwadde nga takyayagala kwerumya.