
Agamba nti mukama we musajja munnanfuusi ate tafaayo ku bakozi be.
Yategeezezza nti okuva lwe baamukwatira ku kisaawe e Ntebe ne doola z’ebicupuli ze baamusiba nga bagenda e South Afrika, tamukubiranga ku ssimu wadde okujja mu kkooti era ssinga teyali Mesach Ssemakula ne Balunywa abaamweyimirira, osanga yandivundidde mu kkomera era takyasobola kugumiikiriza mbeera eno.
Kitooke yagambye nti abadde tamanyi nti waliwo omuyimbi eyamwabulidde kyokka n’amujjukiza nti alina okukimanya nti endagaano gye yakola ya myaka etaano egitannaba kuggwaako.
Waliwo abaagambye nti Mbaziira alina oluyimba lwe yakola ne Mesach ng’era batera okuyimba bonna nga kirabika kye kimuyigudde. Mesach Kojja wa Kitooke.