TOP

Jamal ne maneja we kebabala kaliibwa

Added 19th January 2018

Jamal ne maneja we kebabala kaliibwa

 Jamal ne maneja we

Jamal ne maneja we

OLUVANNYUMA lw'omuyimbi Jamal okubulirira okumala akabanga camera zaffe zaamuguddeko mu bbaala ya Liquid Silk e Naalya ng'alina  ki Baby ky'a pepeya nakyo.

Jamal yagezezzaako okudduka Camera zaffe naye nga zaamukutte dda bweyalabye takyalina ky'akuzza olwo ne batandikira ddala okwemoola ne mwana muwala wabula  bwetwamubuuzizza nti kiki ekimubuzizza bwekito yatutegeezezza nti alina by'afumba bingi era abawagizi be bamwerinde.

 

Jamal twagenze mu maaso ne tumubuuza oba mwana muwala gwetwamusanze naye muninkini we wabula yatwanukuzza akaseko n'agamba nti Bukedde mwefumba nnyo naye leero mbasise Aarial ng'enjogera ye nnaku zino bwegamba.

Jamal yatugambye nti ono maneja we era babadde bazzeeko awo ku Liquid Silk e Naalya okusobola okugatta obwongo n'okulaba engeri Jamal gy'ayinza okudda akube abantu be obuyimba bwe obw'e ki love-love. 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...