TOP

Yeesaze yunifoomu ya muwala we amabeere ne geewaggula

Added 20th January 2018

OMUYIMBI Manabhai Nsolo Nkambwe yasumuludde omuziki agwacamudde maama w’abaana eyabadde yeekapise mu yinifoomu ya muwala we.

Maama ono eyazuuse nga ye Annet Babirye, 36, yeesozze eddiiro okukakasa abazze ku mukolo gw’okukulisa eyafunye diguli nti naye amazina agamanyi.

Mu kwesunda ennyo nga bw’azina ne ppaka kiini, bbulawuzi eyabadde eyabiridde yeeyongedde okuyulika mu mugongo ate mu maaso amapeesa agamu ne gapasukako olwo amabeere ne geewaggula.

Abaabadde ku mukolo gwa Amina Nakandi okujaguza okufuna diguli mu by’embeera z’abantu mu yunivasite y’e Kyambogo ne bamuwa enduulu ng’abamu bagamba nti azina ga ‘digito’.

Babirye oluvannyuma yeekwanyizza n’akwata amabeere agapakire mu bbulawuzi olwo abaabadddwo ne bongera okulaya enduulu.

Tetwategedde oba enduulu yabadde ya kumusiima mazina oba amabeere okwewaggula ekituufu, nze naawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...