
Muyimbi munne Moze Radio owa Goodlyfe naye yabaddeyo.
Spice Diana ng’amannya ge amatuufu ye Diana Namukwaya bwe yatuuse okugabula keeki yeekoze obusolo ne Moze Radio ne batabula abantu era abamu baavuddeyo balowooza nti abantu bano bandibamu engeri endala.
Yalabye Moze Radio azze okumuyozaayoza kwe kukwata akatundu ka keeki n’akateeka ku mumwa n’amusemberera ng’agenda okumukuba kiisi n’ekyaddiridde kumuliisa keeki.
Enduulu yasaanikidde Calender Hotel era abantu baavuddeyo beebuuza lwaki kino yakikoze ku Radio yekka kubanga waabaddewo bayimbi banne abasajja bangi.
Oba Diana ne Radio baabadde mu ffujjo oba laavu yeebatawaanya? Nze naawe. Spice Diana yafunye diguli mu kusiiga ebifaananyi okuva e Makerere.